Job 17

1 aOmutima gwange gwennyise,
ennaku zange zisalibbwaako,
entaana enninze.
2 bDdala abansekerera bannetoolodde;
amaaso gange gabeekengera.

3 c“Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba.
Ani omulala ayinza okunneeyimirira?
4Ozibye emitima gyabwe obutategeera;
noolwekyo toobakkirize kuwangula.
5 dOmusajja avumirira mikwano gye olw’empeera
alireetera amaaso g’abaana be okuziba.

6 e“Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu,
anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.
7 fAmaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala;
omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize.
8 gAbantu ab’amazima beesisiwala olwa kino;
atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda.
9 hNaye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe,
n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi.

10 i“Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje,
naye siraba muntu mugezi mu mmwe!
11 jEnnaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese,
era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange.
12Abantu bano ekiro bakifuula emisana;
mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja.
13 kAmagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi,
bwe njala obuliri bwange mu kizikiza,
14 lne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’
era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’
15 mkale essuubi lyange liba ludda wa?
Ani ayinza okuliraba?
16 nNalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe
Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?”
Copyright information for LugEEEE